Joshua 14:13-15

13 aYoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe. 14Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri. 15 bKebbulooni edda kyayitibwanga Kiriasualuba era Aluba ye yali omukulu asingayo mu Banaki.

Olwo ensi n’eryoka ewummula n’etebaamu ntalo.

Copyright information for LugEEEE